Numbers 26:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ago ge masiga g'Abazebuluni. Abaabalibwa bonna baawera emitwalo mukaaga mu bitaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Zebbulooni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu ebikumi bitaano (60,500).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ezo z'enda ez'abaana ba Bazebbulooni. Bonna abaabalibwa baali emitwalo mukaaga mu bitaano (60,500).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ago ge Masiga g'ab'Ekika kya Zebbulooni, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo mukaaga mu bitaano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ezo ze nda eza Bazebbulooni ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, obukumi mukaaga mu bitaano.