Numbers 26:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Yozefu mu bika byabwe, ekya Manasse n'ekya Efurayimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’omu kika kya Yusufu nga bayita mu bika bya batabani be Manase ne Efulayimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kika kya Yusufu mwe muva enda ya Manase ne Efulayimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosefu yalina batabani be Manasse, ne Efurayimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Batabani ba Yusufu ng'enda zaabwe bwe zaali: Manase ne Efulayimu