Numbers 26:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Manasse: mu Makiri, ab'essiga ly'Abamakiri; Makiri ye yazaala Gileyaadi. Mu Gileyaadi, ab'olunyiriri lw'Abagileyaadi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’omu kika kya Manase ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Makiri, lwe lunyiriri lw’Abamakiri, Makiri ye yali kitaawe wa Gireyaadi. Abaava mu Gireyaadi, lwe lunyiriri lw’Abagireyaadi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Manase yazaala Makiri, omuva enda ey'Abamakiri; Makiri yazaala Gireyaadi, omuva enda eya Bagireyaadi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu Kika kya Manasse, Makiri mutabani wa Manasse oyo, ye kitaawe wa Gileyaadi, era gano ge Masiga g'abo abasibuka mu Gileyaadi:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Batabani ba Manase: okuva ku Makiri, enda eya Bamakiri: Makiri n'azaala Gireyaadi: okuva ku Gireyasdi, enda eya Bagireyaadi.