Numbers 26:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zelofekadi mutabani wa Keferi teyalina baana ba bulenzi, yalina bawala bokka, gano ge mannya gaabwe: Makula, Nowa, Kogula, Miluka ne Tiruza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zerofekadi teyazaala baana balenzi, yalina bawala bokka, amannya gaabwe ge gano: Maala, ne Noowa ne Kogula ne Mirika ne Tiruza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Zerofekadi teyazaala baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala; amannya gabwe ge gano: Maala, Noowa, Kogula, Mirika, ne Tiruza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zelofehaadi mutabani wa Heferi teyazaala baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala era amannya gaabwe ge gano: Maala ne Noowa, Hogula, Milika ne Tiruza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Zerofekadi mutabani wa Keferi teyazaala baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala: ne bawala ba Zerofekadi amannya gaabwe Maala ne Toowa, Kogula, Mirika, ne Tiruza.