Numbers 26:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ago ge masiga mu Manasse. Abaabalibwa bonna baawera emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Manase; abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu (52,700).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ezo z'enda za Manase. N'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu (52,700).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ago ge Masiga ag'ab'Ekika kya Manasse, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ezo ze nda za Manase: n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi butaano mu enkumi bbiri mu lusanvu.