Numbers 26:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezo ze ndyo mu bazzukulu ba Efurayimu, Abaabalibwa bonna baawera emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bitaano. Abo be bazzukulu ba Yozefu mu bika byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Efulayimu; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bitaano (32,500). Abo bonna baava mu Yusufu ng’ebika byabwe bwe byali n’ennyiriri zaabwe bwe zaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ezo ze nda za baana ba Efulayimu. Abaabalibwa ku bo baali, emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bitaano (32,500). Abo be batabani ba Yusufu ng'enda zaabwe bwe zaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ago ge Masiga ag'ab'Ekika kya Efurayimu, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bitaano. Abo bonna basibuka mu Yosefu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ezo ze nda za batabani ba Efulayimu ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, obukumi busatu mu enkumi bbiri mu bitaano. Abo be batabani ba Yusufu ng'enda zaabwe bwe zaali.