Numbers 26:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n'okweyongerayo, ng'Omukama bwe yali alagidde Musa. Bano be Bayisirayeli abaava mu nsi y'e Misiri:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mubale abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.” Bano be baana ba Isirayiri abaava mu nsi y’e Misiri:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mubale omuwendo gw'abantu bonna abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo; nga Mukama bwe yalagira Musa. Bano be baana ba Isiraeri abaava mu nsi y'e Misiri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mubale abantu abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, nga Mukama bwe yalagira Musa.” Bano be Bayisirayeli abaava mu nsi y'e Misiri:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mubale omuwendo gw'abantu, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo; nga Mukama bwe yalagira Musa n'abaana ba Isiraeri, abaava mu nsi y'e Misiri.