Numbers 26:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezo ze ndyo mu bazzukulu ba Benyamiini. Abaabalibwa bonna baawera emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Benyamini; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga (45,600).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo be baana ba Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali. Abaabalibwa ku bo baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga (45,600).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ago ge Masiga ag'ab'Ekika kya Benyamiini, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo be batabani ba Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali: n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi buna mu enkumi ttaano mu lukaaga.