Numbers 26:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Daani mu ssiga lyabwe: mu Sukamu, ab'essiga ly'Abasukamu. Eryo lye ssiga mu Daani;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’omu kika kya Ddaani ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano: abaava mu Sukamu, lwe lunyiriri lw’Abasukamu. Abo be baava mu Ddaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kika kya Ddaani mwe muva enda y'Abasukamu okuva mu Sukamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekika kya Daani kyalimu abasibuka mu Suhaamu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bano be batabani ba Ddaani ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Sukamu, enda eya Basukamu. Ezo ze nda za Ddaani ng'enda zaabwe bwe zaali.