Numbers 26:47 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezo ze ndyo mu bazzukulu ba Aseeri. Abaabalibwa bonna baawera emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu bina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Aseri; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ezo z'enda z'abaana ba Aseri. Abaabalibwa ku bo baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu bina (53,400).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ago ge Masiga ag'ab'Ekika kya Aseri, era abaabalibwa ku bo, baali abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ezo ze nda eza batabani ba Aseri ng'abo abaabalibwa ku bo bwe baali, obukumi butaano mu enkumi ssatu mu bina.