Numbers 26:54 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abangi bawe obusika bunene, abatono bawe obusika butono; obunene bw'obusika buli bamu bwe banaafuna bunasinziira ku muwendo gw'ababaliddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibiina ekinene kinaafuna wanene, n’ekibiina ekitono kinaafuna watono. Buli kibiina kinaafuna obunene nga obungi bw’amannya agali ku lukalala bwe genkana obungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekika ekirina abantu abangi, olikiwa ettaka ddene, n'ekika ekirina abantu abatono, olikiwa ettaka ttono. Buli kika kiriweebwa ettaka okuba obutaka bwakyo, okusinziira ku bungi bw'abantu baakyo abaabalibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekika ekirina abantu abangi, olikiwa ettaka ddene, n'ekika ekirina abantu abatono, olikiwa ettaka ttono. Buli kika kiriweebwa ettaka okuba obutaka bwakyo, okusinziira ku bungi bw'abantu baakyo abaabalibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abayinga obungi olibawa obusika okusukkiriza, n’abatono olibawa obusika okukendeezaako: buli muntu ng'abo abaabalibwa ku ye bwe baali, bw'aliweebwa bw'atyo obusika bwe.