Numbers 26:55 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi ya kugabibwa ku kalulu kokka. Bajja kusikira nga bagoberera amannya g'ebika bya bajjajjaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weegendereze okukakasa ng’ensi egabanyizibbwa mu bwenkanya. Ekika, ekitundu kye kinaafuna kineesigama ku bungi bw’amannya ga bajjajja b’ekika ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ettaka lirigabibwa na bululu, ng'amannya g'ebika bya bajjajjaabwe bwe gali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ettaka lirigabibwa nga likubirwa kalulu. Balirigabana nga bagoberera mannya ga bika bya bajjajjaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye ensi erigabibwa na bululu: ng'amannya g'ebika bya bakitaabwe bwe gali bwe balisika.