Numbers 26:57 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano be Baleevi abaabalibwa mu masiga gaabwe: mu Gerusoni, ab'essiga ly'Abagerusoni; mu Kewati, ab'essiga ly'Abakewati; ne mu Merari, ab'essiga ly'Abamerari.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano be Baleevi abaabalibwa ng’enyiriri zaabwe bwe zaali: abaava mu Gerusoni, lwe lunyiriri lw’Abagerusoni; abaava mu Kokasi, lwe lunyiriri lw’Abakokasi; abaava mu Merali, lwe lunyiriri lw’Abamerali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bano be baabalibwa ku Baleevi ng'enda zaabwe bwe zaali: Abagerusoni okuva mu nda ya Gerusoni, Abakokasi okuva mu nda ya Kokasi, Abamerali okuva mu nda ya Merali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bano be Baleevi abaabalibwa okusinziira ku nsibuko zaabwe: abasibuka mu Gerusooni, n'abasibuka ku Kohati, era n'abasibuka mu Merari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bano be baabalibwa ku Baleevi ng'enda zaabwe bwe zaali: okuva ku Gerusoni, enda eya Bagerusoni: okuva ku Kokasi, enda eya Bakokasi: okuva ku Merali, enda eya Bamerali.