Numbers 26:59 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mukazi wa Amuramu nga ye Yokebedi, muwala wa Leevi eyamuzaalirwa mu Misiri. Yokebedi yazaalira Amuramu abaana ab'obulenzi Aroni ne Musa, ne Miriyamu mwannyinaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erinnya lya muka Amulaamu ye yali Yokebedi muwala wa Leevi, Leevi gwe yazaalira mu Misiri. N’azaalira Amulaamu bano: Alooni, ne Musa ne mwannyinaabwe Miryamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muka Amulaamu yali ayitibwa Yokebedi, muwala wa Leevi. Yokebedi ye yazaalira Amulaamu Alooni, Musa, ne Miryamu mwannyinaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muka Amuraamu yali ayitibwa Yokebedi muwala wa Leevi. Yokebedi oyo baamuzaala bali Misiri. Yokebedi ye yazaalira Amuraamu abaana Arooni ne Musa, ne Miriyamu mwannyinaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mukazi wa Amulaamu erinnya lye Yokebedi, muwala wa Leevi, eyazaalirwa Leevi mu Misiri: n'azaalira Amulaamu Alooni ne Musa ne Miryamu mwannyinaabwe.