Numbers 26:62 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna abaabalibwa baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu, abasajja okuva ku w'omwezi ogumu n'okweyongerayo. Tebaabalibwa na Bayisirayeli balala, kubanga baali tebafunye busika mu Bayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja bonna okuva ku mwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo, abaabalibwa, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu (23,000). Tebaabalirwa wamu na baana ba Isirayiri nga babalibwa, kubanga Abaleevi bo tebaaweebwa mugabo gwa butaka ng’abaana ba Isirayiri bagabana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja Abaleevi bonna abaabalibwa, okuva ku mwana ow'obulenzi ow'omwezi ogumu n'okusingawo, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu (23,000). Bo tebaabalibwa wamu n'Abaisiraeri bannaabwe, kubanga Abaleevi tebaaweebwa ttaka lya nsikirano nga Abaisiraeri abalala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja Abaleevi bonna abaabalibwa, okuva ku mwana ow'obulenzi awezezza omwezi ogumu n'okusingawo, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu. Bo tebaabalibwa wamu n'Abayisirayeli bannaabwe, kubanga Abaleevi tebaaweebwa ttaka lya nsikirano nga Bayisirayeli balala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi bubiri mu enkumi ssatu, buli musajja eyaakamala omwezi ogumu n'okukirawo: kubanga tebaabalibwa mu baana ba Isiraeri, kubanga tebaaweebwa busika mu baana ba Isiraeri.