Numbers 26:63 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo be baabalibwa Musa ne Eleyazari kabona lwe baabala Abayisirayeli mu miseetwe gy'e Mowabu ku Yorudani emitala wa Yeriko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo be baabalibwa Musa ne Eriyazaali kabona lwe baabala abaana ba Isirayiri mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo be baana ba Isiraeri, Musa ne Eriyazaali kabona, be baabalira mu nsenyi z'e Mowaabu, ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo be basajja Abayisirayeli abaabalibwa Musa ne Eleyazaari kabona, ku lubalama lw'Omugga Yorudaani, okwolekera Yeriko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo be baabalibwa Musa ne Eriyazaali kabona; abaabalira abaana ba Isiraeri mu nsenyi za Mowaabu ku Yoludaani e Yeriko.