Numbers 26:65 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga Omukama yali amaze okubagamba nti bonna baali ba kufiira mu ddungu; era tewaasigala n'omu ku abo, wabula Kalebu mutabani wa Yefunne, ne Yoswa mutabani wa Nuunu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama Katonda yali agambye abaana ba Isirayiri abo nti awatali kubuusabuusa bonna bagenda kufiira mu ddungu. Era tewali n’omu eyasigalawo nga mulamu okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune, ne Yoswa mutabani wa Nuuni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga Mukama yali aboogeddeko nti, “bonna bagenda kufiira mu ddungu, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune ne Yoswa mutabani wa Nuuni.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Mukama yali agambye nti bonna baali ba kufiira mu ddungu. N'olwekyo, tewaali n'omu ku bo eyasigalawo, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefunne, ne Yoswa mutabani wa Nuuni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama yali ayogedde ku bo nti Tebalirema kufiira mu ddungu. So tewaasigalawo ku bo n'omu wabula Kalebu mutabani wa Yefune ne Yoswa mutabani wa Nuni.