Numbers 26:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ago ge masiga mu Rubeni. Abaabalibwa bonna baawera emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu asatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Lewubeeni. Abo abaabalibwa baawera emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu amakumi asatu (43,730).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ezo z'enda eza baana ba Lewubeeni: n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu asatu (43,730).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ago ge Masiga g'ab'Ekika kya Rewubeeni, era abaabalibwa ku bo, baali emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu asatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ezo ze nda eza Balewubeeni: n'abo abaabalibwa ku bo baali obukumi buna mu enkumi ssatu mu lusanvu mu asatu.