Numbers 26:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Eliyabu baali: Nemweli, Datani ne Abiramu. Bano, Datani ne Abiramu, be bakulembeze b'abantu abaayombesa Musa ne Aroni; baali mu bagoberezi ba Kora lwe baayombesa Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne batabani ba Eriyaabu baali, Nemweri ne Dasani ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu be bo abaali abakulembeze mu kibiina abaajeemera Musa ne Alooni era baali mu kabondo k’abagoberezi ba Koola abaajeemera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eriyaabu n'azaala Nemweri, Dasani ne Abiramu. Dasani ne Abiramu be balondebwa ekibiina, ne begatta ku bagoberezi ba Koola, ne bawakanya Musa ne Alooni ne bajeemera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne batabani be, Semweli, ne Datani, ne Abiraamu. Datani ne Abiraamu abo be baalondebwa ekibiina ky'abantu, ne bawakanya Musa ne Arooni, era be beetaba ne Koora lwe baawakanya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batabani ba Eriyaabu; Nemweri ne Dasani ne Abiraamu. Abo be Dasani ne Abiraamu abo, abaalondebwa ekibiina, abaawakana ne Musa ne Alooni mu kibiina kya Koola, bwe baawakana ne Mukama: