Numbers 27:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo bawala ba Zelofekadi mutabani wa Keferi, mutabani wa Gileyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manasse, ow'omu kika kya Manasse, eyali mutabani wa Yozefu, ne basembera. Abawala nga be ba Makula, Nowa, Kogula, Miluka ne Tiruza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abawala ba Zerofekadi mutabani wa Keferi, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, baali ba mu kika kya Manase mutabani wa Yusufu. Amannya g’abawala abo nga ge gano: Maala, ne Noowa, ne Kogula, ne Mirika ne Tiruza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Maala, Noowa, Kogula, Mirika ne Tiruza, bawala ba Zerofekadi, mutabani wa Keferi, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, abasibuka mu nda ya Manase mutabani wa Yusufu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne weesowolayo abawala abayitibwa Maala, ne Noowa, Hogula, ne Milika, ne Tiruza, bawala ba Zelofehaadi mutabani wa Heferi, Heferi mutabani wa Gileyaadi, Gileyaadi mutabani wa Makiri, Makiri mutabani wa Manasse, Manasse mutabani wa Yosefu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne wasembera bawala ba Zerofekadi, mutabani wa Keferi, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, ab'oku nda za Manase mutabani wa Yusufu: ne gano ge mannya ga bawala be; Maala, Noowa ne Kogula ne Mirika ne Tiruza.