Numbers 27:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'atabeeranga na baganda be, obusika bwe obuwanga baganda ba kitaawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’anaabanga talina baganda be, omugabo gwe onooguwanga baganda ba kitaawe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bw'anaabanga talina ba luganda, kale obusika munaabuwanga baganda ba kitaawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'anaabanga talina baganda be, kale ebintu bye munaabiwanga baganda ba kitaawe ne babisikira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bw'anaabanga talina ba luganda, kale munaawanga baganda ba kitaawe obusika.