Numbers 27:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'aba kitaawe teyalina ba luganda lwe, obusika bwe obuwanga oyo amuli okumpi mu b'eŋŋanda ze; ye abusikire. Eno y'eneeba enkola ey'etteeka ku Bayisirayeli ng'Omukama bwe yalagira Musa.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kitaawe bw’aba nga teyalina baganda be, omugabo gwe onooguwanga owooluganda asinga okuba ow’okumpi mu kika kye, oyo y’anaagutwalanga. Eryo linaabanga tteeka erinaakwatibwanga abaana ba Isirayiri, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kitaawe bw'anaabanga talina baganda be, kale munaawanga obutaka bwe oyo amuli okumpi mu luganda mu kika kye; Lino linaabanga etteeka Abaisiraeri lye banaakuumanga; nga Nze Mukama bwe nkulagidde ggwe Musa.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bw'anaabanga talina na baganda ba kitaawe, olwo ebintu bye munaabiwanga oyo amulinako oluganda olusinga okuba olw'okumpi mu lulyo lwe, ne biba bibye. Lino linaabanga etteeka Abayisirayeli lye banaakuumanga, nga Nze Mukama bwe nkulagidde ggwe Musa.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kitaawe bw'anaabanga talina ba luganda, kale munaawanga obutaka bwe oyo amuli okumpi mu luganda ku nda ye, naye anaabulyanga: era linaabanga eri abaana ba Isiraeri tteeka lya musango, nga Mukama bwe yalagira Musa.