Numbers 27:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'onoomala okugiraba, naawe oneegatta ku bajjajjaabo nga Aroni muganda wo bwe yabeegattako,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’onoomala okugiraba, naawe ojja kugenda abantu bo bonna gye baalaga, nga bwe kyali ne ku muganda wo Alooni,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale bw'onoomala okugirengera, ofiire eyo nga muganda wo Alooni naye bwe yafa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'onoomala okugirengera, ojja kufa, weegatte ku bajjajjaabo nga muganda wo Arooni bwe yafa n'abeegattako,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale bw'onoomala okugirengera, naawe olikuŋŋaanyizibwa eri abantu bo, nga Alooni muganda wo bwe yakuŋŋaanyizibwa: