Numbers 27:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga mwembi mwajeemera ekiragiro kyange luli mu ddungu ly'e Zini ekibiina lwe kyanjeemera, ne mutooleka mu maaso gaabwe bwe ndi omutuukirivu wali ku mazzi.” Ge gaago amazzi g'e Meriba mu ddungu ly'e Zini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga mwembi mwajeemera ekigambo kyange, abantu bwe baajagalala mu ddungu lya Zini ne mutampeesa kitiibwa ng’omutukuvu mu maaso gaabwe.” Ago ge gaali amazzi ag’e Meriba mu Kadesi mu ddungu ly’e Zini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga mwajeemera ekigambo kyange e Kadesi, mu ddungu Zini, ekibiina ky'abaana ba Isiraeri bwe beemulugunya olw'obutaba na mazzi, ne mutampa kitiibwa.” Ago ge mazzi ag'e Meriba e Kadesi mu ddungu Zini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga mmwe mwembi mwajeemera ekiragiro kyange mu Ddungu ly'e Ziini. Ekibiina kyonna bwe kyanjeemera e Meriba ku mazzi, mwagaana okumpeesa ekitiibwa mu maaso gaabwe.” Ago ge mazzi g'e Meriba, e Kadesi mu Ddungu ly'e Ziini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga mwajeemera ekigambo kyange mu ddungu Zini, mu kuwakana kw'ekibiina, okuntukuliza ku mazzi mu maaso gaabwe. (Ago ge mazzi ag'e Meriba e Kadesi mu ddungu Zini.)