Numbers 27:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abalambike mu bye bakola, abakulembere mu ntalo zaabwe, abantu b'Omukama baleme kubeera ng'endiga okutali musumba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
afulumenga era ayingirenga mu maaso gaabwe, omuntu anaabafulumyanga era anaabayingizanga, abantu ba Mukama baleme okuba ng’endiga ezitaliiko musumba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
anaabakumakumanga, baleme kuba ng'endiga ezitalina musumba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abakulemberenga, era abakumeekumenga, abantu bo bano baleme kuba nga ndiga ezitalina musumba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
anaafulumanga mu maaso gaabwe, era anaayingiranga mu maaso gaabwe, era anaabafulumyanga, era anaabayingizanga; ekibiina kya Mukama kireme okuba ng'endiga ezitalina musumba.