Numbers 27:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bayimirira mu maaso ga Musa ne Eleyazari kabona n'abaami n'ekibiina kyonna awo ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano, ne bagamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwali lumu, ne bajja okumpi n’omulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bayimirira mu maaso ga Musa ne Eriyazaali kabona, ne mu maaso g’abakulembeze n’ag’ekibiina kyonna, ne bagamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bajja eri Musa ne Eriyazaali kabona, ne mu maaso g'abakulembeze, n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu ne bagamba nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bajja mu maaso ga Musa ne Eleyazaari kabona, n'abakulembeze, n'ekibiina kyonna, ku mulyango gwa Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, ne bagamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bayimirira mu maaso ga Musa ne mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g'abakulu nekibiina kyonna, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, nga boogera nti