Numbers 27:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anaayimiriranga mu maaso ga Eleyazari kabona, ono, ng'agoberera omukolo gwa Wurimu, ajja kwebuuzanga ew'Omukama ku lulwe ki ky'alina okukola. Bw'anaalagiranga ekibiina kyonna ekya Yisirayeli, nga kifuluma, bw'anaalagiranga, nga kiyingira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anajjanga n’ayimirira mu maaso ga Eriyazaali kabona anaamutegeezanga ebinaabanga bisaliddwawo ng’akozesa Ulimu mu maaso ga Mukama Katonda. Abaana ba Isirayiri bonna, bw’anaalagiranga banaafulumanga, era bw’anaalagiranga banaayingiranga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Anaagendanga eri Eriyazaali kabona, ne Eriyazaali anaamubuulizanga Mukama, era Mukama anaamwanukulaga okuyita mu Ulimu; bw'atyo Eriyazaali anaaluŋŋamyanga Yoswa, n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaagendanga eri Eleyazaari kabona, Eleyazaari n'akozesanga Wurimu n'amubuuliza kye njagala akole. Bw'atyo Eleyazaari ye anaawabulanga Yoswa, n'Abayisirayeli bonna mu byonna bye banaakolanga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era anaayimiriranga mu maaso ga Eriyazaali kabona, anaamubuulizanga olw'omusango gwa Ulimu mu maaso ga Mukama: banaafulumanga lwa kigambo kye, era banaayingiranga lwa kigambo kye, ye n'abaana ba Isiraeri bonna wamu naye, ekibiina kyonna.