Numbers 27:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'akola ng'Omukama bwe yali alagidde. Yaddira Yoswa, n'amuyimiriza mu maaso ga Eleyazari kabona, n'ekibiina kyonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’akola nga Mukama Katonda bwe yamulagira. Yatwala Yoswa n’amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso g’ekibiina kyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira. N'atwala Yoswa n'amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso g'ekibiina kyonna,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira. N'atwala Yoswa, Yoswa n'ayimirira mu maaso ga Eleyazaari kabona, nga n'ekibiina ky'abantu kyonna weekiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira: n'atwala Yoswa, n'amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso g'ekibiina kyonna: