Numbers 27:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'amussaako emikono, n'amutongoza, ng'Omukama bwe yali alagidde ng'ayita mu Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo n’amussaako emikono gye, n’amukuutira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'amuteekako emikono, n'amukuutira, nga Mukama bwe yamulagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'assa emikono gye ku Yoswa, n'amukwasa obukulu, nga Mukama bwe yamulagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amuteekako emikono, n'amukuutira, nga Mukama bwe yayogera n'omukono gwa Musa.