Numbers 27:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kitaffe yafiira mu ddungu; ye teyali mu bagoberezi ba Kora abeegatta okulwanyisa Omukama, wabula yafa lwa kibi kye; teyaleka baana ba bulenzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kitaffe yafiira mu ddungu. Teyali omu ku bajeemu abagoberezi ba Koola abaajeemera Mukama; naye ye yafa bufi lwa bibi bye, naye teyalekawo baana babulenzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kitaffe yafiira mu ddungu, nga tazadde baana ba bulenzi. Teyali mu kibiina ky'abo abeekuŋŋaanya ne beetaba ne Koola okuwakanya Mukama, wabula ye yafa lwa kibi kye ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kitaffe yafiira mu ddungu nga tazadde baana ba bulenzi. Teyali mu kibiina ky'abo abeekuŋŋaanya ne beetaba ne Koora okuwakanya Mukama, wabula ye yafa lwa kibi kye kirala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kitaffe yafiira mu ddungu, so teyali mu kibiina ky'abo abeekuŋŋaanyiza ku Mukama mu kibiina kya Koola: naye yafiira mu kibi kye ye; so teyazaala baana ba bulenzi.