Numbers 27:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bawala ba Zelofekadi basaba kituufu. Bawe obutaka mu b'eŋŋanda za kitaabwe, basikire obusika bwe, obusika bwa kitaabwe obuzze gye bali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abawala ba Zerofekadi kye bagamba kituufu; bafunire omugabo ogw’obutaka awamu ne baganda ba kitaabwe, era n’omugabo gwa kitaabwe gubaweebwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bawala ba Zerofekadi boogera bya nsonga; oteekwa okubawa obutaka mu kika kya kitaabwe, era basikire omugabo gwa kitaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bawala ba Zelofehaadi kye bagamba kituufu. Bawe obutaka obw'ensikirano mu baganda ba kitaabwe, basikire omugabo gwa kitaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bawala ba Zerofekadi boogera bya nsonga: tolirema kubawa butaka bwa busika mu baganda ba kitaabwe; era olibasisa obusika bwa kitaabwe.