Numbers 27:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli bagambe bino: ‘Omuntu bw'afanga nga talese mwana wa bulenzi, obusika bwe obuddizanga muwala we;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era gamba abaana ba Isirayiri nti, ‘Omusajja bw’anaafanga nga taleseewo mwana wabulenzi, kale omugabo gwe ogw’obusika bwe gunaaweebwanga omwana we omuwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era onoogamba abaana ba Isiraeri nti, ‘Omusajja bw'anaafanga nga tazadde mwana wa bulenzi, kale muwala we anaasikiranga ebintu bye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era gamba Abayisirayeli nti: ‘Omusajja bw'anaafanga nga tazadde mwana wa bulenzi, muwala we anaasikiranga ebintu bye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onoogamba abaana ba Isiraeri nti Omusajja bw'anaafanga nga tazadde mwana wa bulenzi, kale muwala we munaamusisanga obusika bwe.