Numbers 28:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ku lusooka mu mwezi muweerezanga Omukama ekitambiro ekyoke eky'ente ennume ento bbiri, endiga ennume emu, obuliga obulume musanvu, byonna nga tebiriiko kamogo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ku buli lunaku olw’olubereberye olwa buli mwezi onooleetanga eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ennume ento bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume musanvu abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu; byonna nga tebiriiko kamogo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era ku buli lunaku olusooka olwa buli mwezi, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama: ente envubuka bbiri, endiga ennume emu, endiga ento musanvu ezitaliiko bulema eziwezezza omwaka;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ekiweebwayo ku buli ntandikwa ya mwezi, munaawangayo eri Mukama ekitambiro ekyokebwa nga kiramba: ente envubuka bbiri, n'endiga enkulu ennume emu, endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, era ezitaliiko kamogo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era emyezi gyammwe we ginaasookeranga munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, ente envubuka bbiri, n'endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema;