Numbers 28:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku buli nte nnume ento muweererezangako ekitone eky'okuyiwa eky'evviini eweza ekyokubiri ekya yini; ku buli ndiga ennume ekyokusatu ekya yini, ne ku buli kaliga akalume ekyokuna ekya yini. Ekyo kye kinaabanga ekitambiro ekyokye, ekya buli mwezi, ku buli lusooka omwezi omwaka gwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku buli nte ennume ento kunaaleeterwangako ekiweebwayo ekyokunywa ekya lita emu n’obutundu munaana eza wayini; ku ndiga ennume ento ekya wayini apima lita emu n’obutundu bubiri, ne ku buli mwana gw’endiga ennume ekyokunywa ekya lita emu n’obutundu bubiri eza wayini. Ekyo kye kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli mwezi nga gwakaboneka mu mwaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako bye bino: ku nte; ekitundu eky'ekkumi eky'evinnyo. Ku ndiga ennume, ekitundu eky'okusatu ekya ini; ku ndiga ento ekitundu ekyokuna ekya ini. Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku olusooka olw'omwezi okumalako omwaka gwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ebigenderako, binaabanga lita bbiri ez'omwenge ogw'emizabbibu, olwa buli nte ennume, lita emu n'ekitundu, olwa buli ndiga nkulu ennume, ne lita emu, olwa buli ndiga ento. Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli mwezi, okumalako omwaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako binaabanga kitundu kya ini ey'envinnyo olw'ente, n'ekitundu eky'okusatu eky'ekibya olw'endiga ennume, n'ekitundu eky'okuna ekya ini olw'omwana gw'endiga: ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ekya buli mwezi okumalako emyezi egy'omwaka.