Numbers 28:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kuweererezebwangako Omukama embuzi ennume ng'ekitambiro olw'ekibi. Kino kyongereza ku kitambiro ekyokye ekya bulijjo wamu n'ekitone kyakyo eky'okuyiwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’oggyeko ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo awamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako, munaaleetanga embuzi ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi eri Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku ebyo byonna on'ogattangako ekiweebwayo eri Mukama, embuzi ennume emu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako, munaawangayo eri Mukama embuzi ennume emu, ebe ekiweebwayo olw'ebibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi eri Mukama; eneeweebwangayo era n'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako.