Numbers 28:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muweererezangako ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro, ekitambiro ekyokye eky'ente ennume ento bbiri, endiga ennume emu, obuliga obulume musanvu, byonna nga tebiriiko kamogo;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama Katonda, ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente eza sseddume ento bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka gumu ogw’obukulu; nga byonna tebiriiko kamogo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munaawangayo ekiweebwayo eky'okebwa n'omuliro eri Mukama: ente envubuka bbiri, endiga ennume emu n'endiga ento ennume musanvu eziwezezza omwaka ezitaliiko bulema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaawangayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa, ne kyokebwa nga kiramba: ente envubuka bbiri, n'endiga enkulu ennume emu, n'endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, era ezitaliiko kamogo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye munaawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama; ente envubuka bbiri, n'endiga ennume emu, n'abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu: banaabanga gye muli abataliiko bulema: