Numbers 28:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Muweerezanga bwe mutyo buli lunaku okumala ennaku musanvu ekyokulya ekiwonge n'omuliro, akawoowo akasanyusa Omukama. Kino mukiweerezanga okwongereza ku kitambiro ekyokye ekya bulijjo ne ku kitone kyakyo eky'okuyiwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munaategekanga mu ngeri eyo, buli lunaku, emmere ey’ekiweebwayo ekyokebwa, okumala ennaku musanvu, nga ke kawoowo akasanyusa Mukama Katonda; ekyo kinaateekebwateekebwanga okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo awamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe mutyo bwe munaawangayo buli lunaku, okumalako ennaku musanvu, eky'okulya eky'ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama awamu n'eky'okunywa kyakwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe mutyo bwe munaawangayo buli lunaku okumala ennaku omusanvu, ekiweebwayo ekyokebwa, ekiwunyira Mukama akawoowo. Munaakiwangayo okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe mutyo bwe munaawangayo buli lunaku, okumalako ennaku musanvu, eky'okulya eky'ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama: kinaaweebwangayo era n'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako.