Numbers 28:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ku lunaku olw'ebibala ebisookera ddala, bwe muweerezanga Omukama ebibala by'eŋŋano esooka, mu Wiiki enkulu, muyitanga olukuŋŋaana olutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna muzito.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ku lunaku olw’ebibala ebibereberye, kwe munaaleeteranga ekiweebwayo eky’emmere y’empeke ey’obuwunga, eri Mukama Katonda, ku Mbaga ya Wiiki, munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu; era temuukolerengako mirimu gyonna egya bulijjo egy’okukakaalukana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ku lunaku olusooka olw'embaga ey'amakungula, emala ennaku omusanvu, kwe munaaweerangayo ekiweebwayo eky'obutta obuggya eri Mukama, wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu. Temulukolerangako mulimu gwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ku lunaku olusooka olw'Embaga ey'Amakungula, era eyitibwa Embaga eya Wiiki Omusanvu, nga muwaayo eri Mukama eŋŋaano eyaakakungulwa, munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne ku lunaku olw'ebibala ebibereberye, bwe munaawangayo ekiweebwayo eky'obutta obuggya eri Mukama mu mbaga yammwe eya ssabbiiti, kale munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono: