Numbers 28:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muweerezanga ekitambiro ekyokye eky'ente ennume ento bbiri, endiga ennume emu, n'obuliga obulume musanvu obw'omwaka ogumu gumu, akawoowo akasanyusa Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ento eza sseddume bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu, nga ke kawoowo akasanyusa Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, okuba evvumbe eddungi eri Mukama: ente envubuka bbiri, endiga ennume emu, abaana b'endiga ento ennume musanvu, eziwezezza omwaka;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekiwunyira Mukama akawoowo: ente envubuka bbiri, endiga enkulu ennume emu, n'endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa okuba evvumbe eddungi eri Mukama; ente envubuka bbiri, endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu;