Numbers 28:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bagambe nti: ‘Bino bye bitone ebiwonge n'omuliro bye munaawerezanga Omukama: “ ‘Buli lunaku muweerezanga obuliga bubiri obulume, obw'omwaka ogumu obutaliiko kamogo. Kino kye kitambiro ekyokye ekya bulijjo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bagambe nti, ‘Ekiweebwayo ekyokye ky’ojjanga okuwaayo eri Mukama, kinaabanga bwe kiti: endiga ennume bbiri ezitaliiko kamogo nga buli emu ya mwaka gumu ogw’obukulu: zaakuweebwangayo nga njokye buli lunaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era onoobagamba nti, “Kino kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro kye munaawangayo eri Mukama: abaana b'endiga abalume abataliiko bulema, abawezezza omwaka gumu, buli lunaku babiri, okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era abagambe nti: “Kino kye kiweebwayo ekyokebwa kye munaawangayo eri Mukama: endiga ento ennume bbiri ez'omwaka ogumu ogumu era ezitaliiko kamogo, zibenga ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onoobagamba nti Kino kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro kye munaawangayo eri Mukama; abaana b'endiga abalume abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema, buli lunaku babiri, okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo.