Numbers 28:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mubiweerezanga okwongereza ku kitambiro ekya bulijjo ekyokye eky'oku makya n'ekitone kyakyo eky'obuwunga. Ensolo wetegerezanga ne ziba nga teziriiko kamogo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo byonna munaabiwangayo awamu n’ekiweebwayo kyabyo ekyokunywa; okwo kwe munaagattanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ekiweebwayo kyako eky’emmere ey’empeke. Mwegenderezenga okulaba ng’ensolo ezo zonna teziriiko kamogo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awamu n'ebyo, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekigenderako. Mugenderere, mulabe ng'ebiweebwayo byonna tebiriiko bulema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaawangayo ebyo wamu n'ebiweebwayo byabyo eby'ebyokunywa ebigenderako, okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, wamu n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekigenderako. Era mwekkaanyenga nti bye muwaayo, tebiriiko kamogo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako, munaawangayo n'ebyo (binaabanga gye muli ebitaliiko bulema), n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako.