Numbers 28:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kye kitambiro ekyokye ekya bulijjo nga bwe kyalagirwa ku lusozi Sinayi, akawoowo akasanyusa, ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo ky’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli kiseera nga bwe kyalagirwa ku lusozi Sinaayi, nga ke kawoowo akasanyusa ak’ekiweebwayo ekyokye eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro ekitaliggwaawo, ekyalagirwa ku lusozi Sinaayi, okuba evvumbe eddungi, ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kino kye kiweebwayo ekyokebwa nga kiramba ekya buli lunaku, ekyasooka okuweerwayo ku Lusozi Sinaayi, nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekiwunyira Mukama akawoowo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekyalagirwa ku lusozi Sinaayi okuba evvumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.