Numbers 28:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku buli kaliga kunaagenderangako ekitone eky'okuyiwa eky'omwenge ekiweza ekyokuna ekya yini. Evviini ey'ekitone eky'okuyiwa mugiyiyiranga Omukama mu Kifo Ekitukuvu
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako kinaabanga kya lita ng’emu ku buli ndiga. Ekiweebwayo ekyokunywa eri Mukama Katonda munaakifukiranga mu watukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekiweebwayo eky'okunywa ekigendera ku mwana gw'endiga oguweebwayo enkya, kinaabanga kitundu kya kuna ekya ini. Ekiweebwayo ekyo kinaabanga kika, era onookifukanga mu watukuvu eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigendera ku buli ndiga ento emu, kinaabanga kya lita emu. Ekiweebwayo ekyo eky'ebyokunywa ekika, kye mutonera Mukama, munaakiyiwanga mu Kifo Ekitukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako kinaabanga kitundu kya kuna kya ini olw'omwana gw'endiga ogumu: mu watukuvu mw'onoofukiranga ekiweebwayo eky'okunywa ekika eri Mukama.