Numbers 28:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ku lunaku olwa Sabbaato muweerezanga obuliga obulume bubiri obw'omwaka ogumu obutaliiko kamogo, ko n'ebyekkumi bibiri ebya efa eby'obuwunga obukuŋŋunte obulungi omutabuddwa omuzigo, ng'ekitone kyakyo eky'obuwunga n'ekitone kyakyo eky'okuyiwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ku lunaku lwa Ssabbiiti munaaleetanga ekiweebwayo eky’endiga ennume ez’omwaka ogumu ogw’obukulu, ezitaliiko kamogo, wamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako, n’ekiweebwayo eky’obuwunga obulungi ekiweza nga kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu nga butabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ne ku Ssabbiiti munaawangayo endiga ento ennume ezitaliiko bulema, eziwezezza omwaka, bbiri; n'ebitundu eby'ekkumi bibiri ebya efa ey'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, okuba ekiweebwayo eky'obutta, wamu n'ekiweebwayo eky'okunywa kyakwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ku lunaku olwa Sabbaato, munaawangayo endiga ento ennume bbiri, ezitannaweza myaka ebiri, era ezitaliiko kamogo. Era munaawangayo kilo bbiri ez'obuwunga obw'eŋŋaano obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ogw'emizayiti, okuba ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, era ne mwongerako n'ekiweebwayo eky'ebyokunywa ekigenderako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku ssabbiiti abaana b'endiga babiri abalume abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema, n'ebitundu eby'ekkumi bibiri ebya efa ey'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta, obutabuddwamu amafuta, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako: