Numbers 29:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Era olunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwomusanvu, mukolanga olukuŋŋaana olutukuvu; temukolerangako mulimu gwonna muzito. Mukuzanga embaga ku lw'Omukama okumala ennaku musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu era temulukolerangako mirimu egya bulijjo. Munaakolanga embaga eri Mukama Katonda okumala ennaku musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu, munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu, temulukolerangako mulimu gwonna, era munaakwatanga embaga eyo eri Mukama okumala ennaku musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu, munaakuŋŋaananga okusinza, era temuukolenga mulimu na gumu. Munaakolanga embaga okumala ennaku musanvu, okussaamu Mukama ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono, era munaakwatiranga embaga ennaku musanvu eri Mukama: