Numbers 29:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muweerezanga ekitambiro ekiwonge n'omuliro, akawoowo akasanyusa Omukama, ekitambiro ekyokye eky'ente ennume ento kkumi na ssatu, endiga ennume bbiri, n'obuliga obulume obw'omwaka ogumu kkumi na buna, byonna nga tebiriiko kamogo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekyokebbwa ku muliro ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa Mukama Katonda, nga kya nte eza sseddume ento kkumi na ssatu, endiga ennume ento bbiri, abaana b’endiga abalume abaweza omwaka gumu ogw’obukulu kkumi na bana; nga byonna tebiriiko kamogo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olusooka olw'embaga, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama: ente envubuka kkumi na ssatu (13), endiga ennume bbiri, endiga ento eziwezezza omwaka era ezitaliiko bulema, kkumi na nnya (14);
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ne mukyokya nga kiramba, kiwunyire Mukama akawoowo: ente envubuka kkumi na ssatu, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama; ente envubuka kkumi na ssatu, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu; banaabanga abataliiko bulema: