Numbers 29:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ku lunaku olwokubiri, muweerezanga ente ennume kkumi na bbiri, endiga ennume bbiri, n'obuliga obulume kkumi na buna obw'omwaka ogumu, byonna nga tebiriiko kamogo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ku lunaku olwokubiri munaateekateekanga ente eza sseddume ento kkumi na bbiri, n’endiga ennume ento bbiri n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abaweza omwaka gumu ogw’obukulu, nga byonna tebiriiko kamogo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ku lunaku olwokubiri olw'embaga, munaawangayo ente envubuka kkumi na bbiri (12), endiga ennume bbiri, endiga ento ennume eziwezezza omwaka, era ezitaliiko bulema kkumi na nnya (14);
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ku lunaku olwokubiri, munaawangayo ente envubuka kkumi na bbiri, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku lunaku olw'okubiri munaawangayo ente envubuka kkumi na bbiri, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema: