Numbers 29:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muweerezanga ekitambiro ekyokye, akawoowo akasanyusa Omukama, eky'ente ennume ento emu, endiga ennume emu, n'obuliga obulume musanvu obw'omwaka ogumu, byonna nga tebiriiko kamogo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. Munaateekateekanga ente ento eza sseddume bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu; ebyo byonna nga tebiriiko kamogo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, okuba evvumbe eddungi eri Mukama: ente envubuka emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume musanvu, eziwezezza omwaka era ezitaliiko bulema;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaawangayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, kiwunyire Mukama akawoowo: ente ennume envubuka emu, endiga enkulu ennume emu, n'endiga ento ennume musanvu ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa okuba evvumbe eddungi eri Mukama; ente envubuka emu, endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume omusanvu abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema: