Numbers 29:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ku lunaku olwokusatu muweerezanga ente ennume kkumi n'emu, endiga ennume bbiri, n'obuliga obulume kkumi na buna obw'omwaka ogumu, byonna nga tebiriiko kamogo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ku lunaku olwokusatu munaateekateekanga ente eza sseddume kkumi n’emu, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu; nga byonna tebiriiko kamogo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ku lunaku olwokusatu olw'embaga, munaawangayo ente kkumi n'emu (11), endiga ennume bbiri, n'endiga ento ennume eziwezezza omwaka era ezitaliiko bulema kkumi na nnya (14);
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ku lunaku olwokusatu, munaawangayo ente kkumi n'emu, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya ez'omwaka ogumu ogumu, nga zonna teziriiko kamogo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku lunaku olw'okusatu ente kkumi n'emu, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema;