Numbers 29:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ku lunaku olwookutaano muweerezanga ente ennume mwenda, endiga ennume bbiri, n'obuliga obulume kkumi na buna obw'omwaka ogumu, byonna nga tebiriiko kamogo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ku lunaku olwokutaano munaateekateekanga ente eza sseddume mwenda, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka ogumu nga byonna tebiriiko kamogo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ne ku lunaku olw'okutaano munaawangayo ente mwenda, endiga ennume bbiri, endiga ento eziwezezza omwaka era ezitaliiko bulema kkumi na nnya (14);
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ku lunaku olwokutaano, munaawangayo ente mwenda, endiga enkulu ennume bbiri, n'endiga ento ennume kkumi na nnya, nga zonna teziriiko kamogo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku lunaku olw'okutaano ente mwenda, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema: